Zechariah 13:2-3

2 a“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 3 bEra singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.

Copyright information for LugEEEE